Amawulire

Aba LDU basse agambibwa okubeera omubbi

Aba LDU basse agambibwa okubeera omubbi

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2020

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Agambibwa okubeera omubbi wakasalooli, aaba LDU bakubye amasasi agamusse, e Matugga.

Bino bibadde ku kyalo Ssanga e Matugga mu district ye Wakiso, obubadde bwebubadde busasaana.

Okusinziira ku mumyuka womwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Oweyesigyire, omugenzi ye Amos Twesigye ngabadde mutuuze ku kyalo kino.

Ono kigambibwa nti aba LDU ababadde balawuna bamusanze ne banne 4, nga bafubutuka mu nnimiro yomutuuze ne kasooli.