Amawulire

Aba FDC bayise aba NUP babegatteko

Aba FDC bayise aba NUP babegatteko

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Abekibiina kya FDC basabye banaabwe, bwebavuganya gavumenti aba National Unity Platform n’omuyima waabwe Robert Kyagulanyi okubegattako, bade mu bantu okubebbuzaako ku kisaanye okukoledwa, oba ekiddako.

Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine, olunnaku lwe ggulo yategezezza nti bagenda kujjayo omusango gwabadde yawaaba mu kooti ensukulumu ngawakanya obuwanguzi bwa Yoweri Museveni owa NRM, mu kulonda kwa bonna okwaliwo nga 14 January 2021.

Bwabadde ayogerako naffe, pulezidenti wa FDC, Patrick Amuriat Oboi agambye nti baali Kyagulanyi bamulabula obutagenda mu kooti, kalenga kwali kumala budde.

Agambye nti ekkubo etuufu, kwekutwala ensonga mu kooti eyabantu babulijjo.

Yye Lord Mayor wa Kampala Erias Lukwago agambye nti ssinga kooti yakiriza Kyagulanyi okukola ennongosetreza mu mpaaba ye, kyandibadde kisobozes omusango guno okugenda mu maaso.

Asabye kooti bulijjo obutakalubyanga nsonga, naye okuwa enjuuyi zonna omukisa nokuwulirwa.