Amawulire

Aba FDC bakyaali bagumu

Ali Mivule

October 28th, 2013

No comments

FDC

Abanene mu kibiina kya FDC bategezeza nga okuva kwa Maj Rubaramira Ruranga’s mu kibiina kino ,bwekitayinza kunafuya kibiina.

Kati olw’obutakkanya obweyongera okuyuza ekibiina kino abakulu bategezezza nga bwebalina essuubi mu lusirika lw’abakungu b’ekibiina kino olw’okubeerawo omwaka ogujja okusobola okwetereeza.

Okusinziira ku minisita w’ebyobulimi mu gavumenti y’ekisikirize  Dr. Francis Epetait, ekibiina kyakweddabulula nga bayita mu kulonda.

Agamba nti era bakukubaganya ebirowoozo ku kifo ky’akulira oludda oluvuganya gavumenti ekivuddeko enkaayana mu kibiina.

Ekibiina kya FDC kizze kiabamu entalo bukyanga kulonda anadda mu kifo kya Besigye nga senkagale w’ekibiina  Kuggwa.