Amawulire

Aba FDC bagala okuwandiisa abantu kuyimirizibwe

Ali Mivule

April 16th, 2014

No comments

 ID 2

Waliwo ekibinja ky’abavubuka b’ekibiina kya FDC  abasazeewo okugenda mu kooti nga bawakanya okuwandiisa abantu okufuna endaga Muntu okugenda maaso mu ggwanga.

Bano bawakanya ekya ba ssentebe b’ekyalo okuteekebwa ku bukiiko obuwandiisa abantu nga bagamba nti buliwo mu bukyamu era tebwesigika.

Bano bagamba nti ebikwatagana ku batuuze tebisaanye kusalibwaawo ba ssentebe ba byalo kubanga  obuvunanyizibwa buno buli mu mikono gy’ekitongole ekivunanyizibwa ku bantu abayingira n’okufuluma eggwanga saako n’okuba nti batuuze.

Abavubuka bano nga bakulembeddwamu  Robert Mayanja era bawakanya eky’okuwandiisa ab’emyaka 16 nga bagamba nti ssemateeka alagira emyaka 18 okuba omuntu nga akuze oba okufuna endagamuntu.

 Mayanja akalambidde nti baagala okwewandiisa kuno kuyimirizibwe okutuusa ng’okwemulugunya kwonna kukoleddwako.