Amawulire

Aba EU basisinkanye aba NRM

Ivan Ssenabulya

February 17th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Akulembera omukago gwa Bulaaya mu Uganda Attilio Pacifici agamba nti yewaddeyo okulaba ngmbeera edda mu nteeko, okulongoosa enkolagana yaabwe ne gavumenti.

Bino webijidde nga gavumenti nayo yakajja eyanukule, ku byasliwo palamenti yomukago gwa Bulaaya, okuteeka envumbo ku bamu ku bakungu ba gavumenti kuno.

Bano babadde basisinkanye obukulembeze bwekibiina kya NRM, wabula Ambassador Pacifici agambye nti bagala okulaba nga ensonga yonna etategerekese bulungi bajinyonyola etegerekeke.

Yye ssabawandiisi wa NRM, Justine Kasule Lumumba agambye nti gavumenti yatukiriza obuvunayzibwa bwayo, okulaba nti banansi bagenda nebalonda era okulonda agamba kwali kwamirembe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *