Amawulire

Aba DP Bloc batiisatiisiza okukuba amaggye mu mbuga

Aba DP Bloc batiisatiisiza okukuba amaggye mu mbuga

Ivan Ssenabulya

October 1st, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Ab’omukaago gwa Democratic Party Bloc batiisatiisiza okuwawabira eggye ly’eggwanga erya Uganda People’s Defense Forces  olw’okuvaayo ne batongozza enkofiira emyufu, ng’e kimu ku byambalo by’amaggye g’eggwanga.

Okusinzira ku mwogezi w’amagye g’eggwanga Brig Richard Karemire, kino kya kanyiziddwako abakulu ab’oku ntikko mu maggye g’eggwanga, okusinzira ku tteeka lya UPDF erya 2005

Bwabadde ayogerako eri bannamawuliire  ku kitenbe kya DP mu Kampala omu kubakulembeze w’omukago guno  Mike Mabike ategezezza nga ab’oludda oluwabula gavumenti bwe batagenda kugondeera kino olw’ensonga nti kuba kulinyirira ddembe ly’abantu.

Ono ayongedeko nti kikyamu ddala olw’ensonga kiyingizza eggye ly’eggwanga mu by’obufuuzi.

Kati wano Mabike wasinzidde natiisatiisa okugenda mu kkooti singa tekisazibwamu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *