Amawulire

Aba DP batabuse e Masaka

Aba DP batabuse e Masaka

Ali Mivule

October 28th, 2015

No comments

File Photo: Mbidde nga seeka

File Photo: Mbidde nga seeka

Bannakibiina kya DP e Masaka bazimudde ekiragiro  kyokubawumuza nebalemera mu ofiisi.

Ku lwokutaano oluwedde , ssentebe w’ekibiina kya DP e Masaka  Fred Denis Mukasa Mbidde y’awumuzza abakulu 6 ku bigambibwa nti ba tebagoberera ssemateeka w’ekibiina.

Abaawumuziddwa kuliko  Dick Lukyamuzi Ssenyond,ssentebe wa  Bukoto East Constituency, Deo Maweje , John Bosco Nawandagala ,  Aisha Nakitende,  wamu ne  Kibula Ntesibe mu lukungaana lwebatuzizza ku kitebe ky’ekibiina e Masaka, omukaaga bano nga bakulembeddwamu Dick Lukyamuzi begaanye eby’okusatirira ssemateeka w’ekibiina era nebategeeza nga Mbidde bw’atalina buyinza kubagaana kukola mirimu gyakibiina.

Wabula Mbidde akalambidde nti bano bazze bamenya ssemateeka w’ekibiina kale nga balina okuwumuzibwa emyezi 3 nga tebakola mulimu gwakibiina gwonna.