Amawulire

Aba DP basabye ssabaminisita ku tteeka lya POMA

Aba DP basabye ssabaminisita ku tteeka lya POMA

Ivan Ssenabulya

January 14th, 2020

No comments

Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kye by’obufuzi ekya Democratic kisabye ssabaminisita Ruhakana Rugunda aveeyo anyonyole ab’oludda oluvuganya  gavumenti wetuuse ne nnongosereza ezakolebwa ebibiina by’obufuzi ebiri mu mukago gwa IPOD mu tteeka erirungamya enkungana erya Public Order Management Act ne kigendererwa eky’okwewala poliisi okulyeyambisa mu bukyamu.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kye’kibiina mu kampala, ssabawandiisi wa DP Gerald Siranda, agamba nti ky’ekiseera gavumenti okuteeka mu nkola ebyasalibwawo ku tteeka lino mu IPOD.

Aba DP okuvayo bwebati kidiridde poliisi okulemesa enkungana z’omubaka wa Kyadondo East Member mu palamenti, Robert Kyagulanyi e’zokwebuuza ku balonzi ezalina okubaayo ssabiiti ewedde.

Mungeri yemu Siranda asabye ssabapoliisi okutegeka emisomo eri abasajjabe egikwata kutteeka lino baleme ku lyeyambisa mu bukyamu.