Amawulire

Aba DP baanukudde Museveni kuby’enfuna

Aba DP baanukudde Museveni kuby’enfuna

Ivan Ssenabulya

June 7th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Ab’oludda oluvuganya gavumenti aba DP banukudde ku bigambo byomukulembeze we’gwanga nti ebyenfuna bigudde lwakirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Mu kwogera kwe erei egwanga ku lunnaku Lwokutaano wiiki ewedde Museveni yategeeza nga COVID-19 bweyagotaanya ebyenfuna.

Ebyanfuna byalina okukul ku 6.3% mu mwaka gwebyenfuna 2019/20 nebitundu 6.2% mu 2020/21 wabula tekyasoboka, byakulira ku 3% ssi nga bwebaali basubidde.

Kati ssenkaggale wa DP Norbert Mao, agambye nti waddenga ssenyiga omukambwe yagotaanya ebyenfuna byamawanga wano mu Uganda ekizbu yenguzi.

Agambye nti okudirirra kuno kuviira ddala kungeri ensimbi zomuwi w’omusolo bwezikwatbwa.

Wabula mu kwogera kwe, Museveni yakiriza nti ddala enguzi ye mulabe we’gwanga asooka ngetandikira munda minisitule yebyensimbi.

Wabula yasubiza nti agenda kujirwanyisa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *