Amawulire

Aba covid mu ggwanga baweze 264

Aba covid mu ggwanga baweze 264

Ivan Ssenabulya

May 20th, 2020

No comments

Bya Shamimu Nateebwa, Minisitule eye byobulamu erangiridde nga bwe waliwo abantu abalala 4 abazuulibwamu ekirwadde kya covid-19

Bano bazuulibwa okuva mu sampo 2,228 ezekebejebwa olunaku lweggulo

Okusinzira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa akulira ebyobujanjabi mu minisitule eno Dr Henry Mwebesa, 2 banauganda songa 2 bavuzi ba tuleela

Kati omuwendo gwa balina ekirwadde wano mu ggwanga gutuuse ku 264, 80 bakyali kundiri,65 bawona era ne basibulwa, teri yafudde

abagoba be bimotooka abagwira abawera 36 abasangidwa nekirwadde badizidwayo dda mu mawanga gabwe.