Amawulire
Aba CCA bawakanyiza ebyókuggala ekisaawe kyé Entebbe
Bya Ivan Ssenabulya,
Ekitongole ekivunanyizibwa ku byentambula y’e nyonyi mu ggwanga ki Civil Aviation Authority kiwakanyizza amawulire agabadde gasasanye nti ekisaawe kye nnyonyi Entebbe kyagaddwa.
Bano bagambye nti amawulire gano gandiba nga gatandikidde mu gamu ku mawanga agokumulirwano, ku lunnaku lwokulonda.
Bwabadde ayogerako naffe, omwogezi wekitongole kino Vianey Lugya agambye nti amawulire gano ssi matuufu, kubanga emirimu gitambula kinawadda era abayingira na bafuluma bakkirizibwa.