Amawulire

Aba booda booda 40 bebatiddwa e Mubende

Aba booda booda 40 bebatiddwa e Mubende

Ivan Ssenabulya

September 17th, 2019

No comments

Bya Magembe Sabiiti

Abakulembeze babagoba ba boda boda mu district ye Mubende, bafulumizza alipoota kungeri gyebazze batibwamu n’okubba pikipiki zabwe bbanga eryemyezi 2.

Ssentebe wa boda boda mu district ye Mubende Kafuuma Joseph ategezezza ng’obuttemu bwebususse e Mubende ekiresewo okutya okwamanyi.

Agambye nti boda boda 86 zezibiddwa ate nga banaabwe abawera 40 batiddwa n’okutusibwako ebisago.

Mungeri yeemu poliisi e Mubende egamba nti yakolagana naba boda boda okusobola okulwanyisa ettemu lino.

Omukwanaganya wamaggye n’omuntu wa bulijjo mu tendekero lye Kabamba Brig Dewusi Sunday, ku kuvuganga abantu bebekengedde mu budde obwekiro.

Bino webijidde nga waliwo aba boda boda 2 abatiddwa gyebuvuddeko, ekyajje banaabwe mu mbeera nebatwaliira amateeka mu ngalo.

Bano olunnaku lwe ggulo bayonoonye ebintu byabo bebatebereza okwenyigira mu kubatta.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *