Amawulire

Aba boda boda bagobaganye ne poliisi

Ivan Ssenabulya

March 26th, 2020

No comments

Bya Ivan Ssenabulya, Sadat Mbogo ne Barbra Nalweyiso

Ab’ebyokwerinda mu district y’e Mpigi bakoze ebikwekweto okufuuza abantu abakyajemedde ebiragiro by’omukulembeze w’egwanga.

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Katonga, Lydia Tushabe atubuulidde nti pikipiki za bodaboda ezisoba mu 100 zezikwatiddwa, taxi 9,  bbaasi 2 n’emotoka eza buyonjo endala.

Ba ddereeva bakwatiddwa n’abasaabaze ngagambye nti bagenda kuvunaanibwa mu mbuga ezamateeka.

Ate abagoba ba bodaboda mu munisipaali ye Mukono basiibye bagobagana nabebyokwerinda, olvanyuma lwekiragiro ekyayise nti pikipiki nentabua endalal ezolulale nti tezirina kutambuza basabaze.

Pikipiki eziwerako zikwatiddwa ezibadde zitwala abasabaze.

Kati twogeddeko ne ssentebe wabagaoba ba boda boda mu kibuga kye Mukono Moses Musasizi ku mbeera ebaddewo.

Yye ssentebe waba boda boda awamu mu district ye Mukono Stephen Ssekikubo atubulidde nti abamu babadde pikipiki bavuga za bbanja.

Mungeri yeemu olukiiko lwa district ya Mityana olw’ebyokwerinda lutudde bukubirire okutema empenda, okulaba engeri ebiragiro byomukulembeze w egwanga bwebinatekebwa mu nkola.

Olukiiko lusazeewo okukozesa amagye ne police okutangira tax, bus, costa ne boda boda okutambula naddala mu kusabaza abantu.

Olukiiko luno lukubiriziddwa RDC Isha Ntumwa nga lwetabiddwamu  ne DISO, CAO, RPC, Mayor nabakulembeze abalala.

Adumira poliisi e Mityana Mwine Mukono atubulide nti mu lukiiko luno basazeewo n’okugala amaduuka gonna mu kibuga, okulekawo supermarket n’obutale byoka.