Amawulire

Aba ANT si bakugenda mu kamyufu

Aba ANT si bakugenda mu kamyufu

Ivan Ssenabulya

June 30th, 2020

No comments

Bya Moses Kyeyune, Ekibiina kya Alliance for National Transformation olunaku olw’enkya lwe kikakasa Maj Gen Mugisha Muntu okukikwatira bendera mu kulonda okujja.

Okusinzira kwakulira eby’okulonda munda mu kibiina kino Dan Mugarura, omulimo guno gwakubeera ku kitebe kye kibiina mu Kampala

Tewanavaayo muntu yenna kwagala kuvuganya Gen Muntu omutandisi w’ekibiina kino

Muntu wakusasula obukadde 3 ngensimbi ezokwewandisa okuvuganya mu kifo kino nokusolooza emikono wakiri 20 egyabakungu bekibiina abamusemba okubakwatira bendera eyokuvuganya ku bwa pulezidenti mu kalulu ka 2021

Radio eno ekitegedeko nti ensimbi zino Gen Muntu yazisasudde dda ngalindiridde lunaku lwankya ku kakasibwa

Mungeri yemu Mugarura, agamba nti tebagenda kugenda mu kamyufu ke kibiina basobole okweyigiriza embeera eyokukanya wabula singa kino kinagaana awo bakutegeka akamyufu