Amawulire

Ivan Ssenabulya

December 24th, 2020

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Rose Fortunate Nantongo, muwala w’omugenzi Robinah
Ssentongo eyali omubaka omukyala owa distulikiti ye Kyotera asusnsuddwa okuvuganya ku kifo nnyina kyeyalimu, ngajidde ku kaada ya DP.

Nantongo asunsuddwa akulira eby’okulonda e Kyotera Coleb Nahamya e Kasaali, ku kitebe kya district ngabadde awerekeddwako abakulembeze ba DP ne banna NRM.

Nantongo bwabadde ayogerako ne bannamawulire oluvannyuma
lw’okusunsulwa, ategeezezza nga bwagenda okutandikira nnyini omugenzi weyakomye.

Robinah Ssentongo, yafa wiiki ewedde ekirwadde kya ssenyiga omukambwe COVID-19.

Tom Balojja, Ssentebe wa DP e Kyotera agambye nti basanyufu okuba nti bafunye omuntu omutuufu okudda mu bigere bya Robinah Ssentongo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *