Amawulire

3 bakwatiddwa ku byokutemula omukozi

3 bakwatiddwa ku byokutemula omukozi

Ivan Ssenabulya

November 8th, 2019

No comments

Bya Sadat Mbogo

Poliisi mu district y’e Mpigi eriko abantu 3 beekutte bajiyambeko mu kunonyereza ku kuttibwa kw’omukyala mu kabuga k’e Kayabwe ku lunaku olwakeesa olwokusatu.

Okusinziira ku akolanga omuduumizi wa poliisi e Mpigi Elias Twesigye, abakwate kuliko omugoba wa mmotoka yomusenyu, owa bodaboda n’omukazi omu agambibwa nti yeeyatuma bano okutta.

Eyattiddwa ye Brenda Nalukenge owemyaka 25, abadde atunda edduuka mu kabuga k’e Kayabwe, wabula abazigu baamuyingiridde nebamufumita ebiso ku bbeere nemu kifuba oluvannyuma nebamusalako obulago omulambo nebaguggalira mu nnyumba.

Abakwate kati bakuumibwa mu kaduukulu ka poliisi e Mpigi ng’okunonyereza bwekugenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *