Amawulire

15 bafiiridde mu kabenje akagudde e Mayuge

15 bafiiridde mu kabenje akagudde e Mayuge

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2020

No comments

Bya Abubaker Kirunda, Abantu 15 bafiiridde mu kabenje k’emotoka akagudewo enkya ya leero mu disitulikiti ye Mayuge.

Akabenje kano kagudde ku kyalo Imanyiro ku luguudo lwa  Musita -Namayingo mugombolola y’’e Imanyiro.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu ky’obukiika kono bwa bweggwanga James Mubi  atubuulidde nti akabenje kano kabademu taxi namba UBB 089A eyambalidde lukululana ebadde eyimiridde ku mabbali g’ekkubo namba UWB 616 ng’ettise ebikajjo.

Taxi evudeko akabenje ebadde eva Busia ng’edda Kampala era bonna abagibaddemu tebasimatuse

Mubi agamba nti akabenje kavudde ku badereeva obutagoberera biragiro by’entambula y’e bidduka kuba emotoka zawerebwa okupakinga ku mabbali g’ekkubo wabula badereeva tebawulira